Corona kyeki era nyinzantya okumwewala?

Corona virus buwuka obusirikitu bwetutayinza kulaba namaaso gaffe, obusobola okusaasaana n'okuleeta endwadde oba obukosefu mubantu. Corona aleeta obubonero obwefaananyira obwassennyiga okugeza okukolola, okukalubirizibwa mukussa, olusujjasujja, nokusiiyibwa kwomubiri. Newankubadde ngobubonero obumu sibwabulabe, naye aleeta okulemererwa kwamawuggwe okussa ekintu ekyobulabe ennyo.

Corona akwata buli muntu. Abantu abakadde naabo abatawanyizibwa endwadde nga; okukalubirizibwa mukussa, kookolo, sukaali bali mukabi kanene nnyo okukosebwa corona virus.

Corona atambula okuva kumuntu amulina ngayita mukussa, okukolola, okunyiza, okwasimula, okukwata kubintu, oba kummere. Corona ayingira mumibiri gyaffe ngayita mukamwa, munnyindo, nemumaaso. Bwatuuka mumubiri atandika okwalula nokusasaanira ebitundu ebirala. Corona asobola okubeera mumubiri okumala ebbanga lyannaku 14 ngatanalaga bubonero bwabulwadde. Kale omuntu asobola okubeera ne Corona naye ngatamanyi era asobola okumusasaanya mubantu abalala.

Corona ayinza okwewalibwa ngatwewala okumweriranya nokunaaba ennyo mungalo zaffe ngatukozesa amazzi agatambula nesabbuuni nebwoba olaba nti engalozo zitukula. Naaba engalo nesabbuuni okumala obutikitiki 20. Jjukira okusosola munjala ngonaaba.Sabika engalo okumalirayo ddala ekibatu.okunaaba engalo nesabbuuni kiyamba okujjako nokutta obuwuka.

Bulijjo naaba mungalo ngatonateekateeka, ngolimukuteekateeka oba ngomaze okuteekateeka ebyokulya, ngovudde mukabuyonjo, ngatonalya, ngojjanjaba abalwadde, ngokutte kubisolo oba obubi byabyo, ngomaze okukolola, okunyiza, oba okulongoosa ennyindo.

Wewale okwekwata mumaaso, munnyindo, nemukamwa ngatosoose kunaaba mungalo.Engalo zaffe zikwaata kubintu bingi era zisobola okujjako akawuka. Engalo eziriko akawuka, zisobola okukatuusa kumaaso, ennyindo, nemukamwa olwnekayingira mumubiri gyaffe nekatuleetera okulwala.

Kyamuwendo nnyo obutaliraana muntu alina olusujjasujja, akolola, oba alina obubonero bwoyo akalubirizibwa mukussa obulungi. Kwata kumimwa bwoba okolola , okunyiza oba okwasimula ngokozesa akatambaala oba toilet paper. Bwomala kasuka kyeweyambisizza mukifo ekituufu. Towandawanda buli wosanze.

Lekawo ebbanga lya mita (1) oba fuuti(3) wakatiiwo nomuntu akolola oba anyiza. Bwoba olina okulabilira omwadde wolusujjasujja, akolola, oba akalubirizibwa mukussa, tewelabira okwambala ebibikka munnyindo nokukuuma engalozo ngannyonjo.

Okwewala corona, engeri esingira ddala kwekwewala okwekubeeseza kubantu abalala. Corona nobuwuka obulala obusirikitu busasaana ngabuyita mukukwatagana mungalo, oluvannyuma nokwata mumaaso, munnyindo, nemukamwa. Bwoba olina gwosisinkanye, tomulamusa ngomukwata mungalo, okumugwa mikifuba, oba okumunwyegera. Mulamuse nekajjambo, oba ngovunamya kumutwe.

Bwoba olowooza nti mukitundu kyo mulimu corona, sigala awakaawo okwewala okwekulukunya nabantu abalala.

Wekuumire awakaawo bwotandika obuteewulira bulungi newankubadde obubonero tebuneeraga , okugeza okulumwa omutwe, lusennyiga olutonotono, okutuusa lwonaawona. Bwoba onyizanyiza, ngolina akakolol, ngokalubirizibwa mukussa obulugi, nolusujjasujja, mubwangu ddala genda ewomusawo ofune obujjanjabi kuba kino kikyayinza okuba endwadde zamawuggwe oba embeera endala eyobulabe ennyo.

Waliwo endowooza enkyamu nengambo ebyogerwa Ku corona, ekintu ekyobulabeera ekiyinza okuviirako okufa kwabantu okugeza; okunwya ebintu ebyerusa nga JIK, VIM nokunwya omwenge sibituufu. Bijja kukosa obulamubwo mukifo kyokutangira corona.

Amawulire getufuna okuva mumikwano nabenganda zaffe abokulusegere gakyayinza okuva amakyamu era agobulabe. Tukole ebyo byokka ebituufu ebitubuulirwa abasawo abakugu.

Osobola okuyamba okulwanyisa corona ngotambuza amawulire gano eri mikwano gyaffe ngatweyambisa emikutu gyempuliziganya nga WhatsApp.